Psalms 39

Ya Mukulu wa Bayimbi: Ya Yedusuni. Zabbuli ya Dawudi.

1 aNagamba nti, “Nneekuumanga mu bye nkola,
n’olulimi lwange lulemenga okwogera ebitali birongoofu.
Abakola ebitali bya butuukirivu bwe banaabanga awamu nange
nnaabuniranga bubunizi ne soogera.”
2 bNaye bwe nasirika
ne sibaako kye njogedde wadde ekirungi,
ate obuyinike bwange ne bweyongera.
3Omutima gwange ne gumbabuukirira munda yange.
Bwe nnali nkyakifumiitirizaako, omuliro ne gukoleera munda yange;
kyenava njogera nti:

4 c“Ayi Mukama, ntegeeza entuuko zange nga bwe ziriba,
n’ennaku ze nsigazza;
ommanyise ebiseera byange mu bulamu buno bwe biri ebimpi ennyo.”
5 dEnnaku z’obulamu bwange wazitegeka ziri ng’oluta.
Obungi bw’emyaka gyange tobulabamu kantu.
Buli muntu, mukka bukka.

6 eDdala ddala omuntu ku nsi ali ng’ekisiikirize.
Atawaana mu kino ne mu kiri, naye byonna butaliimu.
Akuŋŋaanya obugagga, so nga tamanyi agenda kubutwala.

7 fNaye kaakano, Ayi Mukama, nnoonya ki? Essuubi lyange liri mu ggwe.
8 gOndokole mu bibi byange byonna,
abasirusiru baleme okunsekerera.
9 hNasirika busirisi, saayasamya kamwa kange;
kubanga kino ggwe wakikola.
10 iOlekere awo okunkuba,
emiggo gy’onkubye giyitiridde!
11 jOnenya omuntu ng’omukangavvula olw’ekibi kye ky’akola,
omumaliramu ddala ensa, ng’ennyenje bw’ekola olugoye.
Ddala omuntu mukka bukka.

12 kAyi Mukama, wulira okusaba kwange,
owulire okukaaba kwange onnyambe.
Tonsiriikirira nga nkukaabirira.
Kubanga ndi mugenyi bugenyi, omutambuze,
nga bajjajjange bonna bwe baali.
13 lNdeka nsanyukemu, nga sinnava mu nsi muno,
ne mbulirawo ddala.
Copyright information for LugEEEE